Nina akabuuzo bambi mwattu
Maze akaseera nga nkakumye
Ng'era manyi nti akadde mwattu, kaja
Tusisinkanemu nkubuze
Nkubuzemu akabuuzo
Obeera otya naye ggwe
Bwe mba siriwo
Wawerwako ka chai
Ne basaawo sukali
Ne berabira akajjiko
N'otetekanya, ah nyabo (nga aah)
N'onyenyenya, ah naye (nga apaana)
Eyo y'embeera, ah ssebo (we mba eno)
Butikitiki
Ne bwebubera kumi
N'osikayo esimu
N'ompereza hello
Nze ne nziramu honey
Nkumisinga baby
Gwe n'onziramu totya
Olwo ne nguma omutima
Akantu ako akatonotono (k'olaba ng'akatonotono)
Munange akatonotono (nze mpa, mpa)
K'olaba nga akatonotono (k'olaba ng'akatonotono)
Munange akatonotono (nze mpa, mpa)
Okuva ku makya lwewagenze
Ne bwekaba ka message ku WhatsApp
Nkagumireko nga nkulinze
Akafaananyiko ng'oli mu ofiisi
Ka selfie picture ne ka kiss
Oba kale ka message ku Messenger
Akamega wanjjovu, kaba katonotono
Ako ke ka kunkunyi
Njagala nti bw'oba ondese
Nga toli nange just to say
Akadakiika bwe kati, kamu
Nze mazima kankubulire
Okuva kati leero omanye
Nti obwo bwe bundya, bwe bundya, bwe bundya, baby
Akantu ako akatonotono (k'olaba ng'akatonotono)
Munange akatonotono (nze mpa, mpa)
K'olaba nga akatonotono (k'olaba ng'akatonotono)
Munange akatonotono (nze mpa, mpa)
(Nince Henry the writer)
Kwe kuwangala, ne siwubaala
Bwe bwo bwe ndoota, ne nsula nga ne swanta
Kwe kuwangala, oh ne siwubaala (bwe bundya)
Bwe bwo bwe ndoota, ne nsula nga ne swanta (bwe bundya)
Okuva ku makya lwe wagenze (bwe bundya, bwe bundya)
Akabugumuko nga nkakumye (bwe bundya, bwe bundya)
Temperature meter ng'erinye (bwe bundya, bwe bundya)
Njagala nti bw'oba ondese
Nga toli nange just to say
Akadakiika bwe kati, kamu
Nze mazima kankubulire
Okuva kati leero omaanye
Nti obwo bwe bundya, bwe bundya, bwe bundya, baby
Akantu ako akatonotono (k'olaba ng'akatonotono)
Munange akatonotono (nze mpa, mpa)
K'olaba nga akatonotono (k'olaba ng'akatonotono)
Munange akatonotono (nze mpa, mpa)