Oli Wange - Rema Namakula
Oli Wange - Rema Namakula

Oli Wange

36 views

Oli Wange Lyrics

Rema Namakula - Oli Wange Lyrics

Mmmmh, oli wange

Nakooye okumira amalusu nange
Nakooye okutunuulira abo abalina abaabwe
Nebasolobeza nga nze bwe nsaalirwa
Nasobose omugga gw’abaalemwa
Nengobera kulukalu lwabo abawanguzi
Kati nange bwe ntuula mu bantu mpulira njyaamu
Byonna byonna bye babadde bansuubiza
Ensi n’eggulu olwo nendoba
Mbifunidde mu kino etitereke ky’omukwaano

Oli wange (Ne bwe bananvuma)
Oli wange (Ne bwe banankuba emiggo ne bangobera wabweeru)
Ŋŋenda naawe
Oli wange (Ne bwe bananvuma)
Oli wange (Ne bwe banankuba emiggo ne bangobera wabweeru)
Ŋŋenda naawe

Kati mukwano nno tuula ogume okakkane
Nze omanyi ndiba wuwo kiro na misana
Endowooza n’omutima gwange siribikyuusa
Buli wonjagalira mukwano
Ndi beera awo wooli
Ebikuluma ng’ombuulira nange nkubuulire ebyange
Akaseko akalungi ku maaso ago
Tokamalangako bwoba oli eyo
Kimanye nti nange eno gyendi nsigala nkalinze mukwano

Oli wange (Ne bwe bananvuma)
Oli wange (Ne bwe banankuba emiggo ne bangobera wabweeru)
Ŋŋenda naawe
Oli wange (Ne bwe bananvuma)
Oli wange (Ne bwe banankuba emiggo ne bangobera wabweeru)
Ŋŋenda naawe

Oouu, njagala tufune kiritwaawula kubalala abaliyo abeeraga mbu baagalana
Nga kumbe bwebadda ewaka babeera mukuwoza misango
Tusabe Rugaba atuyambengako
Ebituteganya abitumenyeremu mukwano
Oyo yasinga abasinga naffe bwe tumwesiga anatuwanguza
Oouu sembera eno (omulungi)
Beera kumpi
Okumpi nange, tombeera bunaayira
Sembera eno (omulungi)
Beera kumpi
Oouu, tombeera bunaayira

Oli wange (Ne bwe bananvuma)
Oli wange (Ne bwe banankuba emiggo ne bangobera wabweeru)
Ŋŋenda naawe
Oli wange (Ne bwe bananvuma)
Oli wange (Ne bwe banankuba emiggo ne bangobera wabweeru)
Ŋŋenda naawe

Spotted a typo or a wrong line? Submit a lyrics correction for admin review.

Submit Lyrics Correction

Comments (0)

📌 By commenting, you agree to follow these rules. Let’s keep Ennyimba a safe and vibrant place for music lovers!

A-Z

A / B / C / D / E / F / G / H / I / J / K / L / M / N / O / P / Q / R / S / T / U / V / W / X / Y / Z