Make A Difference - Rema Namakula
Make A Difference - Rema Namakula

Make A Difference

36 views

Make A Difference Lyrics

Rema Namakula - Make A Difference Lyrics

Huuuu huu!
Where everyone is accountable
Everyone wins

Bino mbitunuulira bikaabya n'amaziga
Ekikwatta ku baana kimennya n'omutima

Nze ndi maama
So neba maama bye bayitamu okuzaala mazima mbimannyi eyo
Bakazi kumi na munaana baffa
Buli lunaku nsonga ya kuzaala
Olw'obwaavu n'embeera etayogereka
Bannakazadde b'eggwanga oooh!
Anti amalwaliro nga temuli bakuggu
Ate bwe baba bakuggu tebalina bikozesebwa
Byayitamu okutuuka lw'azaala
N'embeera mw'azaalira binnyo

We can make a difference
You and me and everyone else, iyee!
If only we care
To champion saving motherhood in our land

Nzijjukira Sera bwe twasoma
Yali mukwano gwange nnyo
Yali mugezi mu ssomero
Nga n'ebirabo awangula naye lwaali olwo, yafuna olubuto
Ku ssomero ne bamugoba
Ne bazadde be ne bamugoba
N'omusajja n'amwegaana
Yasigala mu bbanga nga talina ayamba
Ng'obuyambi bunaava wa?
Ng'eddagala linaava wa?
Kyokka olubuto lwo nga lukula
Yakwatta bus mpakka Kitoko
Ewa Jjajja we yayaniriza
Kyokka eddwaliro nga mailo munaana
Era yanywa muddo
Entambula ngatalina
Yadde abamu eyo bawona ye Sera bambi ye teyalutonda
N'aleka omwana, yamuleka akaaba

We can make a difference
You and me and everyone else, iyee!
If only we care
To champion saving motherhood in our land

We can make a difference
You and me and everyone else, iyee!
If only we care
To champion saving motherhood in our land

Nkuba omulanga gavumenti ekole
Obuvunaanyizibwa bwayo kale butuuke
Amalwaaliro gabeemu eddagala n'ebikozesebwa, obulamu butaasibwe
Kubanga kiruma
Ekintu ekitono nekivaako obuzibu obunnene buti
Abakyala abafiira mu mukuzaala bataasibwe, abaana bakule nga balimu endasi
Omukyala ow'olubuto atafuna buyambi, n'omwana bw'azaalibwa era kimukosa
Alwaalalwaala, n'oluusi okuffa
Ba maama betaaga kuyamba nnyo

We can make a difference
You and me and everyone else, iyee!
If only we care
To champion saving motherhood in our land

We can make a difference
You and me and everyone else, iyee!
If only we care
To champion saving motherhood in our land

Ekikwaatako nze mbasaba tutereeze eky'aba maama n'abaana wanno wekituuse wazibu
Gavumenti nsaba ekitwaale ng'ensonga
Teweyibaala tomannyi gyekigweera
Nkuba omulanga, abaami baffe mutuyambe
Mutuwerelerengako okunywa eddagala

Where everyone is accountable
Everyone wins

Spotted a typo or a wrong line? Submit a lyrics correction for admin review.

Submit Lyrics Correction

Comments (0)

πŸ“Œ By commenting, you agree to follow these rules. Let’s keep Ennyimba a safe and vibrant place for music lovers!

A-Z

A / B / C / D / E / F / G / H / I / J / K / L / M / N / O / P / Q / R / S / T / U / V / W / X / Y / Z