Hahaha I've been laughing at myself for a while now Aaah Eh yo Montez
Nkyawa olunaku lwe mbulwa N'owooluganda n'abulwa Tulinda baaluganda ng'enkuba Olwo ne tumujaguza kulya kunywa Mukama ebyange bikyaganye naye ate ebya baganda bange Ebya baganda bange okugonda kiweweeza olugendo lwange Osanga nsaba binene nga nze naye ate bo baganda bange? Oluusi n'ekyokulya kibabula kiki ye ennyo Katonda wange? Nze mu muzikiti tugambe sisaala Naye Farouk ne Aminah bo basaala! Ninayo saum ze njosa okusiiba Naye mukyala wange tayosa kisiibo! Ku lwange bambi saasira baganda bange Obuzito bwolese obunafu bwange Kuba mu nsi eno ninamu baganda bange Abo abatalekerera bulamu bwange Naye ate ndibasasula ntya ng'onnyimye amaanyi? Ndifa nsonyi ewa taata ndikonkona ntya mbu city egaanye?
Mukama bwe bigaana nzizaayo ku mugongo gwa jjajja mbe muto Nali mwami wa jjajja Ka lunch ku ssowaani ya jjajja mu buto Kyenva nali ngejja Olumu ekyo kinjagaza okudda mu buto Nali mwami wa jjajja Ka chai mu kikompe kya jjajja mu buto Kyenva nali ngejja
Kiki mba mmunenya azifuna n'abajooga? Obulamu gye tubugula tewaba warranty Akuwalana akugulira ba blogger Mu art w'abakazana mulimu science! Batuloga tukyali ku mabeere Ne tusaba Katonda atubeere N'abaatuvumula baafa baazaawa Twabaziika twalya n'omuceere Batubanja buntubulamu kubwongerangayo bwongezi Naye ate ndibasasula ntya ng'onnyimye amaanyi? Ndifa nsonyi ewa taata ndikonkona ntya mbu city egaanye?
Mukama bwe bigaana nzizaayo ku mugongo gwa jjajja mbe muto Nali mwami wa jjajja Ka lunch ku ssowaani ya jjajja mu buto Kyenva nali ngejja Olumu ekyo kinjagaza okudda mu buto Nali mwami wa jjajja Ka chai mu kikompe kya jjajja mu buto Kyenva nali ngejja
Wadde ng'ebyange bikyagaanye Ate ebya Lydia ne Lillian? Ng'ebya Zanda bikyagaanye Ate ebya Colleb ne Mario John? Wadde ye Wani wa Benz Gina yakusaba ka Rumion Ssi binene nga nnyumba ku beach Mugobero anoonya million Naye kulinga kumenya bank Emirundi asabye billion
Nze nzizaayo ku mugongo gwa jjajja mbe muto Nali mwami wa jjajja Ka lunch ku ssowaani ya jjajja mu buto Kyenva nali ngejja Olumu ekyo kinjagaza okudda mu buto Nali mwami wa jjajja Ka chai mu kikompe kya jjajja mu buto Kyenva nali ngejja
Jahlive
Spotted a typo or a wrong line? Submit a lyrics correction for admin review.