Tuli Balamu - Dokta Brain
Tuli Balamu - Dokta Brain

Tuli Balamu

156 views

Tuli Balamu Lyrics

Dokta Brain - Tuli Balamu Lyrics

Mwana ssente ye ssente
Naye abazirina bagamba ssente ssi ssente

Ngalo nsa
Ntya kujja ngalo nsa (ah)
Ngalo nsa
Ntya kujja ngalo nsa
Pon di beat you know
Chemical Ali Nicer

Nditwala bingi bagamba nti
Mu bulamu teyatuuka ka
Nkola ya kisajja nga bw’ogimanyi
Ne byetutaatumwa twekaka
Nditwala bingi bagamba yafa tulo
Yagaana okwebaka
Yali avuga mu kiro n’akoona
Bwe yafa kwe kwebaka
Nga maama amulinze okujja
Taata amulinze okujja
Naye Walumbe wa buggya
Y’eyalumba teyatuma musujja

Naye gwe nange tuli balamu tulibalamu
(Nnyini bulamu asiimye)
Ffe tuli balamu tulizifuna ssente era tulibalamu
(Lwe zigaanye tewetta)
Tuli balamu (tewetta nkugamba)
Tulibalamu (balamu balamu awo)
Nga tuli balamu tulizifuna ssente
Era tulibalamu (ssente)

Ssente ssente ye ssente
(Money money)
Atalina ssente y’akugamba ssente ye ssente
(Money money money)
Ssente ssente ssi ssente
(Money money)
Alina ssente y’akugamba ssente ssi ssente
(Money money money)
Ki ekigoba ebizibu ebingi
Nebitakuŋŋaana ssente
Ekitufuula busy n’eŋŋanda
Nezitakuŋŋaana ssente
Ensi nzibu omwavu ekutta
Ekuggunda ng’eyabbye ente
Ofa enjala ku lumbe abakungubazi
Ne beesonda ennyama y’ente!
Amaziga gampitamu bwe ndowooza
Ku balungi be nali mmanyi abaazaawa!
Ffe tuli balamu oluusi bbula lya ssente
Ly’erituleetera okwekyawa
Kale ffe yaddeyaddeko bangi olufuna akasente
Nga bagula biso kwesaawa
Mubissi gw’ebyengera gwakaawa
Buli olukedde lukutuma to be wiser

Ng’ate nze naawe tuli balamu uh, tulibalamu
(Nnyini bulamu asiimye)
Ffe tuli balamu tulizifuna ssente era tulibalamu
(Lwe zigaanye tewetta)
Tuli balamu (tewetta nkugamba)
Tulibalamu (balamu balamu awo)
Nga tuli balamu tulizifuna ssente
Era tulibalamu (hmmm)

Waaluganda teweetuga omuguwa gw’oguze
Tugukolemu ekyesuubo
Tuli balamu tulizifuna ssente era tulibalamu
Waaluganda teweetuga omuguwa gw’oguze
Gunyuma nnyo mu kyesuubo
Tuli balamu tulizifuna ssente era tulibalamu
Obamissinga naye (ngalo nsa)
Nange ntya kujja ngalo nsa
Mummy munnange (ngalo nsa)
Herbert Skillz gwe bawaana
Ntya kujja ngalo nsa
Taata munnange
Ngalo nsa, ntya kujja ngalo nsa
Jajja mumugambe
Ngalo nsa, ntya kujja ngalo nsa

Ah pon di beat you know
Chemical Ali Nicer

Spotted a typo or a wrong line? Submit a lyrics correction for admin review.

Submit Lyrics Correction

Comments (0)

📌 By commenting, you agree to follow these rules. Let’s keep Ennyimba a safe and vibrant place for music lovers!

A-Z

A / B / C / D / E / F / G / H / I / J / K / L / M / N / O / P / Q / R / S / T / U / V / W / X / Y / Z