(verse)
Obwavu butuwa choice ntono wadde emmeeme katale
Byakyuka negwoyamba agamba omwegibako akwagale
Olaba Taata amalako omwaka nga aguzeeyo emu empale
Olimanya obuzito bwa buli ngatto lwolisalawo ojambale
Simanyi oba tugenda mu maaso oba tudda mabega gyetwava
Abatusinga sente bebakola ebituufu oba bakola byetwatya
Nkole jiriwa nga n'abasomye tebafunye mirimu gisaana
Lwaki essomero nsi ndala
Ate
N'ensi ssomero ddala
Ssomero ddala
(chorus)
Toli mulalu
Endowoozayo newankubadde ekyukamu
Siri mulalu siri mulalu owaaye
Toli mulalu
Embeera zange zezaawukamu
Siri mulalu siri mulalu owaaye
Toli mulalu
Endowoozayo newankubadde ekyukamu
Siri mulalu siri mulalu owaaye
Toli mulalu
Embeera zange zezaawukamu
Siri mulalu siri mulalu owaaye
(verse)
Kisinziira negyetwakulira
Amasomero buligyetwasomera
Buli gyeyayita wamweyimirira osanga omugezi ataasoma n'osoberwa
Ye
Nga eyawererwa n'akamere tasobola Kukeefunira
Neyeeyita motivational speaker naye
Nga byeyasoma yabyerabira
Kati ggwe lindako Okwejudginga
Nga eriyo omuntu wo akuli munda
Ggwe alina okwekoconvinga
Baakumanya bweru tekumanyi munda abo tebakumanyi ohh
(chorus)
Toli mulalu
Endowoozayo newankubadde ekyukamu
Siri mulalu siri mulalu owaaye
Toli mulalu
Embeera zange zezaawukamu
Siri mulalu siri mulalu owaaye
Toli mulalu
Endowoozayo newankubadde ekyukamu
Siri mulalu siri mulalu owaaye
Toli mulalu
Embeera zange zezaawukamu
Siri mulalu siri mulalu owaaye
(verse)
Bwobaako by'ongamba nembulwako bwebimmatiza siba mulalu
Bwemba n'ekirooto ky'olaba nga ekitaasoboke siba mulalu
Bwengwa mu mukwano n'omuntu nga tanjagale siba mulalu
Oluusi n'onsanga nga ndi bw'omu neneeyogeza siba mulalu
Ebiragala ebinkuba byatandika kiwoomereze tekibulamu
Nazuula late nti mbaddenga nnuusa bulwadde sibulumu
Omujjanjabi w'omulwadde aweddemu essuubi
It's okay toli mulalu
Bugagga ye life etagulwa nsimbi
It's okay okay toli mulalu
Kati obulwa n'essati eyalina essuuti
Osobola kingambire ekuli okumpi
It's okay toli mulalu
Lwa bizibu byansi eno byeyiwa ebingi
Nze nange siri mulalu
(chorus)
Toli mulalu
Endowoozayo newankubadde ekyukamu
Siri mulalu siri mulalu owaaye
Toli mulalu
Embeera zange zezaawukamu
Siri mulalu siri mulalu owaaye
Toli mulalu
Endowoozayo newankubadde ekyukamu
Siri mulalu siri mulalu owaaye
Toli mulalu
Embeera zange zezaawukamu
Siri mulalu siri mulalu owaaye